Mark 2:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno abayigirizwa ba Yowanna n'Abafarisaayo baasiibanga; awo abantu abamu ne bajja, ne bamugamba nti: “Abayigirizwa ba Yowanna Baptista n'abayigirizwa b'Abafarisaayo basiiba, naye lwaki abayigirizwa bo tebasiiba?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abayigirizwa ba Yokaana n’ab’Abafalisaayo baali basiiba. Abantu ne bajja eri Yesu ne bamubuuza nti, “Lwaki abayigirizwa ba Yokaana n’abayigirizwa b’Abafalisaayo basiiba, naye abayigirizwa bo ne batasiiba?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abayigirizwa ba Yokaana n'ab'Abafalisaayo baali nga basiiba; ne bajja ne bamubuuza nti, “ Lwaki abayigirizwa ba Yokaana n'abayigirizwa b'Abafalisaayo basiiba, naye nga abayigirizwa bo tebasiiba?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kiseera ekyo, abayigirizwa ba Yowanne Omubatiza n'Abafarisaayo baali basiiba. Awo abantu abamu ne bajja eri Yesu, ne bamubuuza nti: “Lwaki abayigirizwa ba Yowanne Omubatiza n'abayigirizwa b'Abafarisaayo basiiba, naye ababo ne batasiiba?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abayigirizwa ba Yokaana n’ab’Abafalisaayo baali nga basiiba; ne bajja ne bamugamba nti Kiki abayigirizwa ba Yokaana n'abayigirizwa b'Abafalisaayo ekibasiibya, abayigirizwa bo nga tebasiiba?