Mark 2:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu n'abagamba nti: “Ddala abagenyi ku mbaga y'obugole ng'awasizza akyali nabo bayinza okusiiba? Ng'awasizza akyali nabo tebasobola kusiiba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu n’abaddamu nti, “Ddala ddala abali n’awasiza omugole bayinza batya okusiiba, ng’awasizza omugole ali nabo?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'abagamba nti, “Abagenyi ba wasizza omugole bayinza batya akusiiba awasizza omugole ng'ali nabo? Bwe baba nga bakyali n'awasizza omugole, tebayinza kusiiba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'abaddamu nti: “Abayite ku mbaga y'obugole tebayinza butalya, ng'awasizza omugole akyali nabo. Ekiseera kyonna ky'amala nabo, tebasiiba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yesu n'abagamba nti Abaana b'obugole bayinza batya okusiiba awasizza omugole ng'ali nabo? mu biro byonna nga bali naye awasizza omugole, tebayinza kusiiba.