Mark 2:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tewali muntu atunga kiwero kiggya ku kyambalo kikadde; bw'akola atyo, ekiraka kyeyuza ku kyambalo, ekiggya ne kiva ku kikadde, okuyulika ne kweyongera bweyongezi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Teri muntu atunga kiwero kiggya mu lugoye olukadde kubanga ekiwero ekiggya kiyuza olugoye olukadde, n’ekituli ne kyeyongera okugaziwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tewali muntu atunga ekiwero eky'olugoye oluggya ku kyambalo ekikadde; bw'akola bwatyo ekiwero ekiggya kikutula ekikadde, ekituli ne kyeyongera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Omuntu tatunga mu lugoye, lukadde kiwero kiggya ekitannayozebwamu, kubanga bwe kyetugga, kyekutula ku lugoye olukadde, ne kitwalirako n'ekitundu kyalwo, olwo ekituli ne kyeyongera obunene.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tewali muntu atunga ekiwero eky'olugoye oluggya ku kyambalo ekikadde; bwe kiba kityo kiri eky’oku kizibawo kikutula kiri, ekikadde ekiggya, ekituli ne kyeyongera.