Mark 2:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo ku Sabbaato emu bwe yali ayita mu nnimiro z'eŋŋano, abayigirizwa be ne batandika okunuula ebirimba by'eŋŋano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo mu biro ebyo Yesu yali ayita mu nnimiro y’emmere ey’empeke ku Ssabbiiti, abayigirizwa be ne batandika okunoga ku birimba by’emmere ey’empeke.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo lumu ku lunaku lwa Ssabbiiti Yesu yali ayita mu nnimiro, abayigirizwa be ne batandika okugenda nga banoga ebirimba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olumu Yesu yali ayita mu nnimiro y'eŋŋaano ku lunaku olwa Sabbaato, abayigirizwa be abaali bayise naye, ne bagenda nga banoga ku birimba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka yali ng'atambula mu nnimiro ku lunaku lwa ssabbiiti; abayigirizwa be ne batanula okugenda nga banoga ebirimba.