Mark 2:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nga bwe yayingira mu nnyumba ya Katonda mu mirembe gya Abiyatari kabona omukulu, n'alya Emigaati gy'Okwolesebwa egyaziranga okuliibwa omuntu omulala yenna, wabula bakabona bokka, n'awaako n'abo abaali naye?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
bwe yayingira mu nnyumba ya Katonda mu biro bya Abiyasaali kabona omukulu, n’alya emigaati egy’okulaga n’awaako n’abo be yali nabo, egitakkirizibwa kuliibwako bantu balala okuggyako bakabona.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe yayingira mu nnyumba ya Katonda, Abiyasaali bwe yali nga ye kabona asinga obukulu, n'alya emigaati egy'okulaga, egy'omuzizo okuliibwako wabula bakabona, n'agiwa ne be yali nabo?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
yayingira mu nnyumba ya Katonda, n'alya ku migaati egyali giweereddwayo eri Katonda. Kino yakikola, Abiyataari bwe yali nga ye Ssaabakabona, sso ng'emigaati egyo gyali tegikkirizibwa kuliibwako bantu balala, wabula bakabona bokka. Kyokka Dawudi yagiryako, era n'awaako n'abaali naye.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe yayingira mu nnyumba ya Katonda, Abiyasaali bwe yali nga ye kabona asinga obukulu, n'alya emigaati egy'okulaga, egy'omuzizo okuliibwako wabula bakabona, n'agiwa ne be yali nabo?