Mark 2:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo ne wajjawo abaaleeta omulwadde akonzibye, ng'asituddwa abantu bana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omulwadde eyali akoozimbye ne bamuleeta eri Yesu ng’asituliddwa abasajja bana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bajja abaaleeta omulwadde akoozimbye nga bamwetisse abasajja bana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne wajjawo abaamuleetera omulwadde akonvubye, nga yeetikkiddwa abantu bana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bajja abaaleeta omulwadde akoozimbye nga bamwetisse bana.