Mark 2:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baalemwa okumusembeza w'ali olw'ekibiina, ne basereekulula ku kasolya waggulu ne Yezu we yali; bwe baafunawo omwagaanya, ne bakkiririzaawo olunnyo omulwadde kwe yali agalamidde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bwe balemwa okuyingiza omulwadde eyali akoozimbye olw’ekibiina ekinene ne baseluukulula ku kasolya ne bassa omulwadde ng’ali ku katanda ke.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bwe baalemwa okumuyingiza olw'ekibiina, ne babikkula waggulu ku nnyumba we yali; ne bawummulawo ekituli ne bassa ekitanda akoozimbye kwe yali agalamidde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baalemwa okumutuusa awali Yesu, olw'obungi bw'abantu, ne basereekulula ekitundu ky'akasolya k'ennyumba Yesu mwe yali, ne bayisa omulwadde mu mwagaanya ogwo, ng'agalamidde ku katanda kwe baamuleetera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bwe baalemwa okumusemberera olw'ekibiina, ne babikkula waggulu ku nnyumba we yali: ne bawummulawo ekituli ne bamussiza ku kitanda akoozimbye kwe yali agalamidde.