Mark 2:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amangu ago, Yezu mu mwoyo gwe bwe yategeera bye beebuuza munda yaabwe, n'abagamba nti: “Lwaki mwebuuza mutyo mu mitima gyammwe?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amangwago Yesu n’amanya mu mutima gwe bye baali boogerako bokka ne bokka n’ababuuza nti, “Lwaki mwebuuzaganya ebintu bino mu mitima gyammwe?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amangwago Yesu bwe yategeera mu mwoyo gwe nga be buuzaganya bwe batyo munda yaabwe n'abagamba nti, “Lwaki mwebuuzaganya bwe mutyo mu mitima gyammwe?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amangwago Yesu n'ategeera mu mwoyo gwe, ebyali mu birowoozo byabwe. Kyeyava abagamba nti: “Lwaki mulowooza mutyo mu mitima gyammwe?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amangu ago Yesu bwe yategeera mu mwoyo gwe nga balowooza bwe batyo munda yaabwe n'abagamba nti Kiki ekibalowoozesa ebyo mu mitima gyammwe?