Mark 3:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era n'ayingira mu sinaagooga; omwo mwalimu omuntu ow'omukono ogwakala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu n’ayingira nate mu kkuŋŋaaniro, nga mulimu omusajja eyalina omukono ogukaze.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ayingira nate mu kkuŋŋaaniro, nga mulimu omusajja eyalina omukono ogukaze.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu n'ayingira nate mu kkuŋŋaaniro. Era omwo mwalimu omuntu ow'omukono ogukaze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayingira nate mu kkuŋŋaaniro; mwalimu omuntu eyalina omukono ogukaze.