Mark 3:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga yawonyanga bangi, abalina endwadde, kyebaavanga bamwesuulako bamukwateko.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga yawonya bangi, bangi ne baagala okumugwira bamukwateko olw’endwadde zaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga yawonya bangi, ne bonna abalina endwadde bali benyigiriza bamukwateko bawonyezebwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yabalagira okukola kino kuba, nga bwe yali awonyezza abantu abangi, abalwadde bonna baali beenyigiriza, basobole okumutuukirira, bamukwateko.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga yawonya bangi, n'okugwa abalwadde ne bamugwako bamukwateko, bonna abaali balina ebibonoobono.