Mark 3:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'emyoyo emigwagwa bwe gyamulabanga nga gimuvunnamira nga giwowoggana nti: “Ggwe oli Mwana wa Katonda,”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo emyoyo emibi bwe gyamulaba ne gigwa mu maaso ge nga gireekaana nga gigamba nti, “Ggwe Mwana wa Katonda.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era emyoyo emibi buli lwe gyamulabanga ne gigwa mu maaso ge ne gikaaba nga gigamba nti, “Ggwe Mwana wa Katonda.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu abaliko emyoyo emibi bwe baamulabangako, ne bagwa wansi mu maaso ge, ne baleekaana nti: “Ggwe Mwana wa Katonda!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dayimooni ababi nabo bwe baamulaba ne bagwa mu maaso ge ne bakaaba nga bagamba nti Ggwe Mwana wa Katonda.