Mark 3:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'alonda kkumi na babiri babeerenga naye, abatumenga okuyigiriza,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’alonda kkumi na babiri mu abo, be yafuula abatume babeerenga naye, era abatumenga okubuulira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'alondamu kkumi n'ababiri okubeeranga awamu naye, era abatumenga okubuulira
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'ayawulako kkumi na babiri, babeerenga wamu naye, era abatumenga okubunyisa obubaka bwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayawulamu ekkumi n'ababiri okubeeranga awamu naye, era abatumenga okubuulira,