Mark 3:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakobo mutabani wa Zebedaayo ne Yowanna muganda wa Yakobo, be yayongerako erinnya erya 'Bowanerige', kwe kugamba nti: 'Abaana b'enjota';
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yakobo ne Yokaana, batabani ba Zebbedaayo, Yesu be yatuuma “Bowanerege” amakulu nti, “Abaana b’Okubwatuka.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne Yakobo omwana wa Zebbedaayo, ne Yokaana, muganda wa Yakobo: bano n'abatuuma amannya Bowanerege, amakulu gaalyo nti, “Baana ba kubwatuka.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
batabani ba Zebedaayo: Yakobo ne Yowanne, be yayongerako erya “Bowaneruge” (ekitegeeza nti: “Ababwatuka nga laddu”),
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne Yakobo omwana wa Zebbedaayo, ne Yokaana, muganda wa Yakobo; nabo n'abatuuma amannya Bowanerege, amakulu gaalyo nti Baana ba kubwatuka: