Mark 3:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bamwekaliriza balabe oba anaamuwonya ku Sabbaato balyoke bamuwawaabire.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baali balindirira okulaba obanga anaamuwonya ku Ssabbiiti balyoke bamuwawaabire.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bamutunulira nnyo okulaba oba anaamuwonyeza ku lunaku lwa ssabbiiti, balyoke bamuwawaabire.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Waaliwo abantu abamu abaali baagala okuwawaabira Yesu. Ne bamwekaliriza amaaso, balabe oba anaawonya omuntu oyo ku Sabbaato, balyoke bagende bawaabe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bamulabirira oba anaamuwonyeza ku lunaku lwa ssabbiiti, era bamuloope.