Mark 3:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abawandiisi abaali bavudde e Yeruzaalemu ne bagamba nti: “Alimu Beelizebuli, n'emyoyo emibi agigoba ku bwa mukulu w'emyoyo emibi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye abannyonnyozi b’amateeka abaava e Yerusaalemi ne bagamba nti, “Aliko Beeruzebuli omukulu wa baddayimooni, era obuyinza bwe bw’akozesa okugoba baddayimooni.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye abawandiisi abaaserengeta okuva e Yerusaalemi ne bagamba nti, “Aliko Beeruzebuli, era agoba dayimooni ku lwo mukulu wa badayimooni oyo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abannyonnyozi b'amateeka abaali bavudde e Yerusaalemu, ne bagamba nti: “Aliko Beeluzebuli omukulu w'emyoyo emibi, era akozesa buyinza bwa Beeluzebuli oyo okugigoba ku bantu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abawandiisi abaaserengeta okuva e Yerusaalemi ne bagamba nti Alina Beeruzebuli, era nti Agoba dayimooni ku bwa mukulu wa badayimooni.