Mark 3:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obanga Sitaani yeerwanyisa bw'atyo, aba yeetemyemu, talisobola kunywera; atuuse ku nkomerero.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne Setaani bw’atyo bw’alwanagana yekka na yekka tayinza kubaawo. Wabula yeezikiriza yekka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era oba Setaani yeegolokokeddeko ye yekka, n'ayawukanamu, tayinza kuyimirira, wabula aba yeezikiriza yekka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne Sitaani singa yeerwanyisa yennyini, obuyinza bwe ne bwawukanamu, aba takyaliwo, ng'azikiridde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era oba Setaani yeegolokokeddeko ye yekka, n'ayawukanamu, tayinza kuyimirira, naye aggwaawo.