Mark 3:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tewali ayinza kuyingira mu nnyumba ya w'amaanyi n'anyaga ebibye, wabula ng'asoose okusiba ow'amaanyi, olwo anaasobola okunyagulula ennyumba ye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye tewali ayinza kuyingira mu nnyumba ya muntu w’amaanyi, okunyaga ebintu bye nga tasoose kumusiba n’alyoka anyaga ebintu bye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye tewali muntu ayinza okuyingira mu nnyumba y'omuntu ow'amaanyi okunyaga ebintu bye, nga tasoose kusiba oyo ow'amaanyi, n'alyoka anyaga ennyumba ye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Tewali ayinza kuyingira mu nnyumba ya muntu wa maanyi n'anyaga ebintu bye, okuggyako ng'asoose kumusiba, olwo n'alyoka anyaga eby'omu nnyumba ye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye tewali muntu ayinza okuyingira mu nnyumba y'omuntu ow'amaanyi okunyaga ebintu bye, nga tasoose kusiba oyo ow'amaanyi, n'alyoka anyaga ennyumba ye.