Mark 3:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
naye buli alivuma Mwoyo Mutuukirivu talisonyiyibwa emirembe gyonna; wabula aliko omusango gw'ekibi eky'emirembe gyonna.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye buli alivvoola Mwoyo Mutukuvu talisonyiyibwa, emirembe n’emirembe naye alisingibwa omusango olw’ekibi eky’emirembe n’emirembe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye oyo yenna anavvoolanga Omwoyo Omutukuvu talina kusonyiyibwa emirembe n'emirembe, naye aba azzizza omusango ogw'ekibi eky'emirembe n'emirembe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye buli avuma Mwoyo Mutuukirivu, talisonyiyibwa, wabula aba akoze ekibi ky'asigala nakyo emirembe gyonna.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye oyo yenna anavvoolanga Omwoyo Omutukuvu talina kusonyiyibwa emirembe n'emirembe, naye azzizza omusango ogw'ekibi eky'emirembe n'emirembe: