Mark 3:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nnyina ne baganda be ne bajja ne bayimirira ebweru, ne bamutumira nga bamuyita.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo baganda ba Yesu ne nnyina ne bajja gy’ali ebweru nga baagala okumulaba. Awo ne bamutumira bamuyite ajje ayogere nabo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo nnyina ne baganda be ne bajja, ne bamutumira ne bamuyita nga bayimiridde wabweru.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo baganda ba Yesu ne nnyina, ne bajja gy'ali, ne bayimirira wabweru, ne bamutumira nga bamuyita.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo nnyina ne baganda be ne bajja, ne bamutumira ne bamuyita nga bayimiridde wabweru.