Mark 3:34 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo ne yeebunguluza amaaso abaali batudde awo nga bamwetoolodde, n'abagamba nti: “Bano ye mmange, be baganda bange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bwe yeetoolooza amaaso abo abaali batudde nga bamwebunguludde, n’abagamba nti, “Bano be mulaba be bammange era be baganda bange!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne yeetoolooza amaaso ku baali batudde enjuyi zonna nga bamwetoolodde n'agamba nti, “ Laba mmange ne baganda bange!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne yeebunguluza amaaso abantu abaali batudde awo nga bamwetoolodde, n'agamba nti: “Mmange ne baganda bange be bano.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'abeetoolooza amaaso abaali batudde enjuyi zonna nga bamwetoolodde n'agamba nti Laba, mmange ne baganda bange!