Mark 3:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo n'abagamba nti: “Kisaanye kukolera obulungi ku Sabbaato nandiki kukolera bubi, kuwonya bulamu oba kutta?” Bo ne basirika busirisi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abagamba nti, “Kikkirizibwa okukola ekirungi ku Ssabbiiti oba okukola ekibi? Okuwonya bulamu oba okubuzikiriza?” Naye ne batamuddamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'abagamba nti, “Kikkirizibwa okukola ekirungi ku Ssabbiiti oba okukola obubi? kuwonya bulamu oba kutta?” Naye ne basirika busirisi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo n'abuuza abaaliwo nti: “Kiki ekikkirizibwa ku Sabbaato? Kukola bulungi, oba kukola bubi? Kuwonya bulamu, oba kubuzikiriza?” Naye bo ne ba sirika busirisi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'abagamba nti Kye kirungi ku lunaku lwa ssabbiiti okukola obulungi nantiki okukola obubi? kuwonya bulamu naatiki kutta? Naye ne basirika busirisi.