Mark 3:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abeebunguluza amaaso ng'akaladde n'obunakuwavu nga munakuwavu olw'obukakanyavu bw'emitima gyabwe; n'agamba omusajja nti: “Golola omukono gwo.” N'agugolola; omukono gwe ne guddirawo ddala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’abatunuulira ng’akambuwadde era nga munakuwavu nnyo olw’obukakanyavu bw’emitima gyabwe, n’agamba omusajja nti, “Golola omukono gwo.” N’agolola omukono gwe, ne guwona.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe yabeetoolooza amaaso n'obusungu, ng'anakuwadde olw'obukakanyavu bw'emitima gyabwe, n'agamba omusajja nti, “Golola omukono gwo.” N'agugolola: omukono gwe ne guwona.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'abeebunguluza amaaso ng'abasunguwalidde, era nga munakuwavu olw'obukakanyavu bw'emitima gyabwe, n'agamba omuntu oyo nti: “Wamma golola omukono gwo.” N'agugolola, ne guwonera ddala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe yabeetoolooza amaaso n'obusungu, ng'anakuwadde olw'okukakaayala kw'emitima gyabwe, n'agamba omuntu ati Golola omukono gwo. N'agugolola: omukono gwe ne guwona.