Mark 3:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu n'avaayo n'abayigirizwa be n'adda ku nnyanja. Ekibiina kinene ne kimugoberera okuva mu Galilaaya era n'okuva mu Buyudaaya,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu n’abayigirizwa be ne bagenda ku nnyanja. Ekibiina kinene ekyava mu Ggaliraaya ne mu Buyudaaya ne kimugoberera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yesu n'abayigirizwa be ne bagenda ku nnyanja, ekibiina kinene ekyava e Ggaliraaya ne kimugoberera; era n'abalala ne bava mu Buyudaaya
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu n'alaga ku lubalama lw'ennyanja wamu n'abayigirizwa be. Abantu bangi ne bamugoberera, nga bava mu Galilaaya ne mu Buyudaaya,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yesu n'abayigirizwa be ne bagenda ku nnyanja, ebibiina bingi ne bimugoberera ebyava e Ggaliraaya n'e Buyudaaya