Mark 3:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'okuva mu Yeruzaalemu ne mu Yidumeya n'emitala wa Yorudani, ne mu miriraano gya Tiiro ne Sidoni; bwe baawulira bye yali akola, ne bajja gy'ali, ekibiina ekinene obulala!
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abalala ne bava mu kibuga Yerusaalemi, n’abalala mu Idumaya, n’abalala ne bava emitala w’omugga Yoludaani n’okwetooloola Ttuulo ne Sidoni ne bamugoberera. Ekibiina ky’abantu bwe baawulira bye yali akola ne bajja gy’ali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'e Yerusaalemi ne Idumaya n'emitala wa Yoludaani, n'okwetooloola Ttuulo n'e Sidoni, ekibiina kinene, bwe baawulira bye yakola, ne bajja gy'ali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne mu kibuga Yerusaalemu, ne mu kitundu ky'e Yidumeya, n'emitala w'Omugga Yorudaani, ne mu kitundu ekiriraanye ebibuga Tiiro ne Sidoni. Bano bonna bajja gy'ali, kubanga baali bawulidde by'akola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
e Yerusaalemi ne Idumaya n'emitala wa Yoludaani, n'abaliraanye e Ttuulo n'e Sidoni, ekibiina kinene, bwe baawulira bye yakola, ne bajja gy'ali.