Mark 3:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'alagira abayigirizwa be okumulabira akaato olw'okubeera ekibiina, baleme kumunyigiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’agamba abayigirizwa be eryato limubeere kumpi olw’ekibiina ekinene, ekibiina kireme kumunyigiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'agamba abayigirizwa be bamusembereze eryato limubeerenga kumpi ekibiina kireme okumunyigiriza;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olw'abantu okuyitirira obungi, Yesu n'alagira abayigirizwa be bategekewo eryato limubeere kumpi, sikulwa ng'ekibiina ky'abantu kimunyigiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agamba abayigirizwa be eryato ettono limubeerenga kumpi ebibiina bireme okumunyigiriza;