Mark 4:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye n'abagamba nti: “Mmwe mwaweebwa ekyama ky'obwakabaka bwa Katonda; naye bali abali ebweru byonna bibabuulirwa mu ngero;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’abagamba nti, “Mmwe muweereddwa omukisa okumanya ekyama ekifa ku bwakabaka bwa Katonda ekyakisibwa abantu abalala abali ebweru waabwo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abagamba nti, “Mmwe muweereddwa ekyama ky'obwakabaka bwa Katonda, naye bali ab'ebweru byonna bibabeerera mu ngero:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ye n'abagamba nti: “Mmwe muweereddwa okumanya ekyama ekifa ku Bwakabaka bwa Katonda. Naye abantu abalala, buli kintu kibabuulirwa mu ngero:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abagamba nti Mmwe mwaweebwa ekyama ky'obwakabaka bwa Katonda: naye bali ab'ebweru, byonna bibabeerera mu ngero: