Mark 4:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“okutunula batunule naye nga tebalaba, okuwulira bawulire naye nga tebategeera; baleme kudda nate basonyiyibwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Balaba bulabi naye nga tebeetegereza, era n’okuwulira bawulira naye tebategeera, si kulwa nga bakyuka ne basonyiyibwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Babe nga balaba naye nga tebeteegereza, babe nga bawulira naye nga tebategeera; sikulwa nga bakyuka ne basonyiyibwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
‘Balyoke balabe, naye nga tebeetegereza; bawulire, naye nga tebategeera, sikulwa nga beenenya ne basonyiyibwa ebibi byabwe.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bwe balaba balabe, ne bateetegereza; era bwe bawulira bawulire, ne batategeera; mpozzi baleme okukyuka nate, okusonyiyibwa.