Mark 4:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bano be bali ku kkubo, ekigambo kwe kisigibwa, beebo bwe bawulira, naye mangu ago Sitaani ajja n'akwakkula ekigambo ekibasigiddwamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate ensigo ezaagwa ku mabbali g’ekkubo, be bawulira ekigambo, amangwago Setaani n’ajja n’akibatwalako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bano be b'oku mabbali g'ekkubo, ekigambo we kisigibwa; awo bwe bawulira, amangwago Setaani n'ajja n'aggyamu ekigambo ekyasigibwa mu bo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu abamu bafaanana ng'ensigo ezaagwa ku mabbali g'ekkubo. Ekigambo bwe kibasigibwamu, bakiwulira, naye amangwago Sitaani ajja n'akibaggyamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bano be b'oku mabbali g'ekkubo, ekigambo we kisigibwa; awo bwe bawulira, amangu ago Setaani n'ajja n'aggyamu ekigambo ekyasigibwa mu bo.