Mark 4:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
naye kubanga tebalina mirandira mu bo, bagumiikiriza akabanga, naye bwe wagwawo ennaku n'okuyigganyizibwa olw'ekigambo, beesittala mangu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye tebalina mirandira, babeera bulungi okusooka, naye olutuukibwako ebizibu oba okuyigganyizibwa olw’ekigambo amangwago babivaako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne bataba na mmizi mu bo, naye bamala ekiseera kitono; awo bwe wabaawo okulaba ennaku oba kuyigganyizibwa olw'ekigambo, amangwago nga bagwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye olw'okuba bafaanana ng'ebimera ebitalina mirandira gisse nnyo wansi mu ttaka, bamalawo akaseera katono. Okubonyaabonyezebwa oba okuyigganyizibwa olw'ekigambo kya Katonda bwe kujja, amangwago nga baterebuka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne bataba na mmizi mu bo, naye bamala ekiseera kitono; awo bwe wabaawo okulaba ennaku oba kuyigganyizibwa olw'ekigambo, amangu ago beesittala.