Mark 4:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
naye okweraliikirira okw'ensi n'okuguya okw'obugagga, n'okwegomba ebirala, bwe bibayingiramu, bituga ekigambo ne kitabala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
naye okweraliikirira n’okusikirizibwa eby’obugagga n’okwegomba ebintu ebirala, bizikiriza ekigambo ne kitabala bibala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
awo emitawaana gy'ensi n'obulimba bw'obugagga, n'okwegomba kw'ebirala byonna bwe biyingira bizisa ekigambo, ne kitabala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
naye okweraliikirira ebintu eby'ensi, n'okulimbibwalimbibwa ebyobugagga, n'okululunkanira ebyokufuna ebirala, bwe bifuga emitima gyabwe, biziyiza ekigambo okubayamba okukola ebikolwa ebirungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo emitawaana gy'ensi n'obulimba bw'obugagga, n'okwegomba kw'ebirala byonna bwe biyingira bizisa ekigambo, ne kitabala;