Mark 4:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaasigibwa mu ttaka eddungi beebo abawulira ekigambo ne bakikkiriza, ne baleeta ebibala: ekimu ne kibala asatu, ekirala nkaaga, n'ekirala kikumi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ettaka eddungi gy’emitima gy’abantu abawulira ekigambo ne bakkiririza ddala era ne bavaamu ebibala, emirundi amakumi asatu, abalala emirundi nkaaga, n’abalala kikumi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abo be bali abasigibwa awali ettaka eddungi; abawulira ekigambo, abakikkiriza, ababala ebibala asatu (30), n'enkaaga (60), n'ekikumi (100).”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ate abalala bafaanana ng'ensigo ezaagwa mu ttaka eddungi. Mu bamu ne byeyongera emirundi amakumi asatu; mu balala emirundi nkaaga, ate mu balala emirundi kikumi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'abo be bali abasigibwa awali ettaka eddungi; abawulira ekigambo, abakikkiriza, ababala ebibala amakumi asatu, n'enkaaga, n'ekikumi.