Mark 4:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era n'abagamba nti: “Ettawaaza ereetebwa mu nnyumba kussibwa mu kibbo, yadde wansi mu kitanda, oba ku kikondo?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu n’ababuuza nti, “Waliwo omuntu akoleeza ettaala n’agivuunikako ekibbo oba n’agiteeka wansi w’ekitanda? Naye omuntu bw’akoleeza ettaala tagiteeka ku kikondo waggulu?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abagamba nti, “Ettaala ereetebwa okuteekebwa munda mu kibbo, nantiki munda w'ekitanda, n'eteteekebwa waggulu ku kikondo?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu n'abagamba nti: “Ettaala tereetebwa kukwekebwa mu kibbo, oba kuteekebwa wansi wa kitanda, wabula kuwanikibwa ku kikondo kyayo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abagamba nti Ettabaaza ereetebwa okuteekebwa munda w'ekibbo, nantiki munda w'ekitanda, n'eteteekebwa waggulu ku kikondo?