Mark 4:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga mpaawo kyakisibwa, wabula nga lwa kwolesebwa; wadde kyakwekebwa, wabula nga lwa kujja mu kitangaala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga buli kintu kyonna ekikolebwa mu kyama kaakano, ekiseera kirituuka ne kiragibwa mu lwatu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga tewali ekikwekebwa, ekitalimanyibwa, oba ekikisibwa, ekitalirabika mu lwatu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale nno buli kintu ekikwekeddwa, kirikwekulwa. Era buli kyama kirimanyibwa mu lwatu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga tewali kikwekebwa, naye kirimanyibwa; newakubadde ekyakisibwa, naye kirirabika lwatu.