Mark 4:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga alina alyongerwako; ate buli atalina, ne ky'alina kirimuggyibwako.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Alina aliweebwa na buli atalina aliggyibwako n’ebyo by’alina.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga alina aliweebwa: n'atalina aliggibwako n'ekyo kyali nakyo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oyo alina ebingi alyongerwako n'ebirala. Ate oyo atalina, aliggyibwako n'akatono k'ali nako.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga, alina aliweebwa: n'atalina aliggibwako n'ekyo ky'ali nakyo.