Mark 4:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era n'abagamba nti: “Obwakabaka bwa Katonda tunaabugeranya ku ki? Lugero ki lwe tunaabuleetera?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu n’ayongera n’abagamba nti, “Obwakabaka bwa Katonda tunaabugeraageranya na ki? Oba tukozese lugero ki okubunnyonnyola?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'agamba nti, “Kiki kye tunaageraageranya n'obwakabaka bwa Katonda? Oba tukozesa lugero ki okubunnyonnyola?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'agamba nate nti: “Obwakabaka bwa Katonda tuyinza kubugeraageranya na ki? Oba lugero ki lwe tuyinza okukozesa okubunnyonnyola?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agamba nti Tunaabufaananya tutya obwakabaka bwa Katonda? Nantiki tunaabunnyonnyolera ku kifaananyi ki?