Mark 4:32 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
naye bw'esigibwa, ekula n'egejja okusinga emiddo gyonna; esuula amatabi amanene, n'ebinyonyi eby'omu bbanga ne bisobola okusula mu kisiikirize kyayo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
naye kavaamu omuti omunene nga gulina amatabi amanene, ennyonyi ez’omu bbanga mwe ziyinza okuzimba ebisu byazo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye bwe kasigibwa kakula, kaba kanene okukira enva zonna, kasuula amatabi amanene; ennyonyi ez'omu bbanga mwe ziyinza okuzimba ebisu byazo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bwe kasigibwa mu ttaka, kamera ne kavaamu ekimera ky'enva ekisingira ddala ebimera eby'enva ebirala byonna obunene. Ne kyawula amatabi manene, ebinyonyi ne bisobola okuzimbamu ebisu, n'okwewogoma mu kisiikirize kyago.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye bwe kasigibwa kakula, kaba kanene okukira enva zonna, kasuula amatabi amanene kale era ennyonyi ez'omu bbanga ne ziyinza okutuula wansi w'ekisiikirize kyagwo.