Mark 4:36 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baaleka ekibiina, ne bamutwala mu lyato nga bwe yali, n'amaato amalala gaali naye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’aleka awo ekibiina, abayigirizwa be ne balinnya mu lyato Yesu mwe yali ne bagenda naye. Abantu abamu ne babagobera mu maato agaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abayigirizwa ne baleka ekibiina, ne balinnya mu lyato Yesu mwe yali ne bagenda naye nga bwe yali. Era n'amaato amalala gaali naye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abayigirizwa be ne bava mu kibiina ky'abantu, ne basaabala mu lyato Yesu mwe yali, ne bagenda naye. N'abantu abalala ne basaabala amaato, ne bagenda naye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe baaleka ekibiina, ne bamutwalira mu lyato, nga bwe yali, Era n'amaato amalala gaali naye.