Mark 4:37 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo omuyaga gw'empewo mungi ne gusituka, amayengo nga gayiika mu lyato, eryato ne libula okujjula amazzi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amangwago omuyaga mungi nnyo ne gukunta n’amayengo amagulumivu ne geeyiwa mu lyato ne libulako katono okujjula amazzi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omuyaga mungi ne gujja, amayengo ne gayiika mu lyato, n'eryato ne litandika okujjula amazzi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omuyaga ne gukunta, amayengo ne geeyiwa mu lyato, ne liba kumpi okujjula amazzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo omuyaga mungi ne gujja, amayengo ne gayiika mu lyato, n'eryato lyali nga ligenda okujjula.