Mark 4:39 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'agolokoka, empewo n'agikomako, n'ennyanja n'agiragira nti: “Sirika, towuuna.” Empewo n'ekoma, ne guba mulaala nnyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’azuukuka n’aboggolera omuyaga n’agamba ennyanja nti, “Tteeka, sirika.” Omuyaga ne gusirika n’ennyanja n’eteekera ddala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'azuukuka, n'aboggolera omuyaga, n'agamba ennyanja nti, “Sirika, teeka.” Omuyaga ne gukkakkana, n'eba nteefu nnyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'azuukuka, n'aboggolera omuyaga, era n'alagira ennyanja nti: “Kkakkana, teeka!” Omuyaga ne gukoma, ennyanja n'eteekera ddala!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'azuukuka, n'aboggolera omuyaga, n'agamba ennyanja nti Sirika, teeka. Omuyaga ne gukkakkana, n'eba nteefu nnyo.