Mark 4:41 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Entiisa n'ebakwata, ne bagambagana nti: “Ono ye ani, okuba nti empewo n'ennyanja bimuwulira?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne batya nnyo, ne beebuuza nti, “Ono ye ani, embuyaga n’ennyanja gwe bigondera?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne batya nnyo, ne bagambagana nti, “Kale ono ye ani, omuyaga n'ennyanja gwe bigondera?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bo ne bakwatibwa ensisi, ne bagambagana nti: “Ono muntu wa ngeri ki? Olaba n'omuyaga era n'amayengo bimuwulira!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne batya entiisa nnene, ne bagambagana nti Kale ono ye ani, kubanga omuyaga n'ennyanja bimuwulira?