Mark 4:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Endala n'egwa mu maggwa, amaggwa ne gaduuma, ne gagifuuwa, n'etabala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Endala ne zigwa mu maggwa. Awo ensigo ne zikula kyokka amaggwa ne gazitta ne zitabala bibala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Endala ne zigwa mu maggwa, amaggwa ne galoka, ne gazizisa ne zitabala bibala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Endala ne zigwa mu ttaka eryameramu amaggwa. Bwe gaamera, ne gakulira wamu nazo, ne gaziziyiza okubala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Endala ne zigwa awali amaggwa, amaggwa ne galoka, ne gazizisa ne zitabala bibala.