Mark 5:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'agikkiriza. Awo emyoyo emigwagwa ne givaamu, ne giyingira mu mbizzi; eggana eriweza embizzi ng'enkumi bbiri ne lifubutuka okuva waggulu ku bbanga, ne lyesolessa mu nnyanja, ne lisaanawo mu mazzi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’abakkiriza, ne bava ku musajja ne bayingira mu ggana ly’embizzi. Awo eggana ly’embizzi lyonna ne liserengetera ku kagulungujjo ne lyeyiwa mu nnyanja, embizzi zonna ne zisaanawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'akkiriza. Awo emyoyo emibi ne giva mu musajja ne giyingira mu mbizzi. Awo eggana ly'embizzi lyonna ne lifubutuka ne liserengetera ku bbanga ne lyeyiwa mu nnyanja. Embizzi zonna ezaali nga enkumi bbiri (2,000), ne zifiira mu nnyanja.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agikkiriza, ne giva ku muntu, ne giyingira mu mbizzi. Eggana eryali liweramu embizzi ng'enkumi bbiri ne lifubutuka, ne liwanuka waggulu ku kagulungujjo k'olusozi, ne lyesuula mu nnyanja, embizzi zonna ne zifa amazzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amukkiriza, Dayimooni n'avaamu, n'ayingira mu mbizzi: eggana ne lifubutuka ne liserengetera ku bbanga mu nnyanja, zaali nga nkumi bbiri, ne zifiira mu nnyanja.