Mark 5:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaali bazirunda ne badduka, ne bagenda babuulira ab'omu kibuga n'ab'omu byalo. Ne bavaayo ne bagenda okulaba kiki ekyali kiguddewo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abaali bazirunda ne badduka mangu ne bagenda bategeeze ab’omu kibuga ne mu byalo ebiriraanyeewo. Abantu bangi ne bajja okulaba ebibaddewo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abaali bazirunda ne badduka, ne babuulira ab'omu kibuga, n'ab'omu byalo ebiriraanyeewo. Abantu bangi ne bajja okulaba ebibaddeyo bwe biri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abaali bazirabirira ne badduka, ne bagenda bategeeza ab'omu kibuga n'ab'omu byalo. Abantu ne bajja okulaba ekiguddewo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abaali bazirunda ne badduka, ne babuulira ab'omu kibuga, n'ab'omu byalo, ne bajja okulaba ebibaddeyo bwe biri.