Mark 5:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bajja awali Yezu, ne balaba omuntu oyo eyali akwatiddwa emyoyo emibi ng'atudde, ayambadde era ng'ategeera bulungi, oyo omusajja eyalimu eggye; ne batya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekibiina ky’abantu ne kikuŋŋaana awali Yesu, naye bwe baalaba omusajja eyaliko ligyoni ng’ayambadde bulungi era ng’ategeera bulungi, ne batya nnyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne batuuka awali Yesu, ne balaba eyaliko baddayimooni abangi ng'atudde, ng'ayambadde era ng'ategeera bulungi, ne batya nnyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne batuuka awali Yesu, ne balaba omuntu eyabeerangako eggye ly'emyoyo emibi. Baamusanga atudde, ng'ayambadde, era ng'ategeera bulungi, ne batya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne batuuka awali Yesu, ne balaba eyaliko dayimooni ng'atudde, ng'ayambadde nga alina amagezi, oyo eyaliko liigyoni; ne batya.