Mark 5:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yali asaabala mu lyato, eyali akwatiddwa emyoyo emibi n'amwegayirira abeerenga naye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu bwe yali ng’alinnya mu lyato, omusajja eyali abaddeko baddayimooni n’amwegayirira bagende bonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe yali ng'alinnya mu lyato okugenda, omusajja eyaliko baddayimooni n'amwegayirira agende naye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe yali ng'asaabala mu lyato, omuntu eyagobwako emyoyo emibi n'amwegayirira amukkirize ayitenga naye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe yali ng'asaabala mu lyato, oyo eyaliko dayimooni n'amwegayirira abeere naye.