Mark 5:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ye n'atamukkiriza, wabula n'amugamba nti: “Genda ewammwe eri ababo obanyumize Omukama by'akukoledde, nga bw'akusaasidde.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’atakkiriza, n’amugamba nti, “Ddayo ewammwe mu bantu bo obabuulire ebintu byonna Mukama by’akukoledde era nga bw’akusaasidde.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Yesu n'agaana, n'amugamba nti, “Genda eka mu babo, obabuulire bwe biri ebikulu Katonda by'akukoledde, ne bw'akusaasidde.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Yesu n'agaana, era n'amugamba nti: “Ddayo ewammwe mu bantu bo, obabuulire byonna Mukama by'akukoledde, era nga bw'akukwatiddwa ekisa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'atamuganya, naye yamugamba nti Genda eka mu babo, obabuulire bwe biri ebikulu Katonda by'akukoledde, ne bw'akusaasidde.