Mark 5:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yava mu lyato, amangu ago omuntu aliko omwoyo omugwagwa, n'ajja okumusisinkana ng'ava mu biggya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu bwe yali yaakava mu lyato omuntu eyaliko omwoyo omubi n’ajja gy’ali ng’ava mu malaalo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe yava mu lyato, amangwago omuntu eyaliko omwoyo omubi naava mu malaalo najja n'amusisinkana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu bwe yali yaakava mu lyato, omuntu aliko omwoyo omubi n'ava mu kifo omuli empuku eziziikibwamu abafu, n'amusisinkana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe yava mu lyato, amangu ago omuntu eyaliko dayimooni eyava mu ntaana n'amusisinkana,