Mark 5:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'agenda, n'atandika okulangirira eri ab'e Dekapoli ebyo Yezu bye yali amukoledde. Bonna ne beewuunya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo omusajja oyo n’agenda ng’atambula mu Dekapoli (ebibuga eby’omu kitundu ekyo) ng’abuulira abantu Katonda bye yali amukoledde byonna. Bonna abaabiwulira ne bawuniikirira nnyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omusajja n'agenda, n'atandika okutegeeza abantu mu Dekapoli bwe biri ebikulu Yesu bye yamukolera. Abantu bonna ne beewuunya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omuntu oyo n'agenda n'atandika okubuulira ab'omu kitundu ky'e Dekapoli, byonna ebyamukolerwa Yesu. Bonna abaabiwulira ne beewuunya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agenda, n'atanula okubuulira mu Dekapoli bwe biri ebikulu Yesu bye yamukolera. Abantu bonna ne beewuunya.