Mark 5:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu bwe yawunguka nate mu lyato, n'ajja emitala, ekibiina ekinene ne kikuŋŋaanira w'ali era ng'ali ku lubalama lw'ennyanja.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu n’awunguka mu lyato nate n’atuuka emitala w’ennyanja. Abantu bangi ne bakuŋŋaanira w’ali ku lubalama lw’ennyanja.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yesu bwe yawunguka nate mu lyato n'atuuka emitala, ebibiina bingi ne bikuŋŋaanira w'ali ku lubalama lw'ennyanja.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu bwe yasaabala mu lyato, n'alaga emitala w'ennyanja. Abantu bangi ne bakuŋŋaanira w'ali, n'abeera nabo ku lubalama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yesu bwe yawunguka ate mu lyato n'atuuka emitala, bibiina bingi ne bikuŋŋaanira w'ali; ye ng'ali kumpi n'ennyanja.