Mark 5:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'amwegayirira ng'agamba nti: “Kawala kange kaliko kateetera; jjangu okasseeko emikono gyo kawone, kalamuke.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’amwegayirira nnyo ng’agamba nti, “Muwala wange abulako katono okufa. Nkwegayiridde jjangu omukwateko omuwonye.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'amwegayirira nnyo ng'agamba nti, “ Muwala wange omuto abulako katono okufa, nkwegayirira jjangu omusseeko emikono gyo, adde mu mbeera ye, alamuke.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'amwegayirira nnyo nti: “Kawala kange kali kumpi okufa. Jjangu ssebo, okakwateko, okawonye, kaleme kufa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'amwegayirira nnyo ng'agamba nti Omuwala wange omuto ali kumpi n'okufa: nkwegayirira ojje, omusseeko emikono gyo, adde mu mbeera ye, alamuke.